Bannayuganda tulwanyise obutujju obwengeri yonna kuba butuggyako eddembe lyaffe eryobumu wamu nokwetaaya – CP Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Ebisigalira bya Basibe Ismael, eyafiira ku CPS tegunafunikako baluganda lwe. Tusabe aboluganda lwe okuvaayo bakime ebisagalira bagende babiziike.
Ebisigalira byabalumiramwoyo ababiri abetulisiza mu bbomu nabyo tebikimibwanga.
Ku balumiramwoyo 3, ababiri bazuulibwa nti baali ba Mmemba ba ADF abakakundi kaba lumiramwoyo nga kuliko; Mugamba Moses Mudasiru aka Kalyowa aka Moze. Ono yatutegeeza nti banne kwaliko Wanjusi Abdul, eyatulisa bbomu y’oku Parliamentary Avenue ne Mansoor Uthman, eyetulisiza ku CPS mu Kampala.
Nga bwenzize nkyogera nti obulumbaganyi buno bukolebwa abantu betumanyi aba ADF, ng’ekigendererwa kyabwe kuteeka kutya mu Bannayuganda. Nga Bannayuganda tulina okulwanyisa obutujju obwengeri yonna kuba butuggyako eddembe lyaffe eryobumu wamu nokwetaaya.”
Leave a Reply