Barbie Itungo Kyagulanyi awandiise ebbaluwa

Ab’enganda, ab’emikwano wamu nabatwagaliza ebirungi,

Olunaku lwaleero nga ndi wamu ne bannamateeka saako abakakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu ggwanga tugenze e Makindye mu Millitary Prison, oluvannyuma lw’enaku eziwerako nsobodde okulaba ku mwami wange n’amaaso gange. Neebaza Omukama Katonda nti akyali mulamu, twongere okumusabira.

Wabula Bobi ali mubulumi bw’amaanyi, buli wamu wamuluma, mazima emagombe yasimbyeyo kitooke era yewuunya engeri gyeyasimatuse naba nga kati akyali mulamu oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa.

Bobi tasobola kuyimirira yadde okutambula nga tebamukwatiridde kuba ebigere akulula bikulule, face ye yawulubadde, era bwomusisinkana oyinza obutamutegeera, alina n’ebiwundu kukutu okumu. Kirabika yakubiddwa ebikonde ebiwerako mu face.

Okumutuusa mu room wetwabadde bamuleese bamusitudde nga tasobola nakutuula, nga asizza mu bulumi obwekitalo. Bweyatuuse okwogera nga kimutwalira ebbanga okwogera era mu bulumi. Yabadde alumwa mu mbiriizi eza kkono wamu negumba ery’ekisambi. Yavudde omusaayi mu matu wamu n’ennyindo era nga gwamukaliddeko. Bobi ali mumbeera embi bwetyo era nga yetaaga obujanjabi mu bwangu. Sikikiriza nti omuntu atalina musango nga Bobi asobola okuyisibwa mu ngeri eyo olw’okuba alina endowooza y’ebyobufuzi eyawukana kuyabalala.

Ye agamba nti newabagamba awaali akavuyo mu Arua teyaliwo kuba yali nabanne nga balaba mawulire mu kifo awaliirwa emmere nalaba nga Yasin ddereeva we akubiddwa amasasi agamuse, bwatyo nagenda mu kisenge kye nga amasasi gatandise okuvuga. Agamba nti obudde bwonna obw’ekiro okutuusa yabumala mu kisenge kye nga awulira abasirikale bamenya enziggi. Era bwebatuuka ku kisenge kye nebamenya oluggi bamusanga ayimiridde nga awanise emikono wagulu era nebamulagira afukamira, wabula yali tanatuuka wansi omusirikale omu namukuba akatayimbwa naggwa wansi era bonna nga 15 nebamuyikira nebatandika okumukuba. Yazirika era teyaddamu kutegeera, wabula oluvannyuma lw’essaawa eziwereako yadda engulu nga ali ku mpingu ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Arua. Tayinza kunnyonyola bulungi kyamutuukako nga azirise, wabula agamba bweyadde engulu batandika okumukuba empisa zatamanyi zaaki era nebwamutwala e Gulu gyebamusibira

Agamba tajjukira byaliwo mu kkooti e Gulu kuba yali agezaako okudda engulu.

Sirabanga ku muntu gwebatulugunyiza okutuuka mu mbeera Bobi gyalimu, era bwagezaako okunyumiza ebyamutuukako olabe embeera gyeyayitamu, bw’omutunulako wewuunya emitima gy’abantu abayinza okukola ekyo.

Amawulire amalungi gali nti Bobi akyali mugumu, era tanaggwamu maanyi wadde nga amagumba ge gamenyeddwa. Akimanyi bulungi nti talina musango, ye omusango gwamanyi gwakulwanirira muntu wawansi. Yewuunyiza bwetwamugambye nti bamuvunaana omusango gw’okusangibwa n’emmundu. Agamba nti abasirikale batutte wallet ye wamu ne ssente zeyabadde nazo. Yewuunyiza okuba nga atwalibwa mu kkooti y’amaggye, naye akimanyi nti kuno kwonna kusasulira kyakiririzaamu. Yasabye Bannayuganda okusigala kumulamwa balwanirire eddembe lyabwe.

Yannyoleddwa nnyo okuttibwa kwa Yasin Kawuma ate nga teyasobodde nakumuziika. Bwetwamubulidde ku mbeera Zaake gyalimu era namusaasira nnyo.

Yansabye mbeere mugumu ku lw’abaana baffe era nemukakasa nti njakubeera mugumu obudde bwonna. Era asiima nnyo mwenna Bannayuganda abali wano n’ebweru abali awamu naye.

Twagala Bobi akirizibwe okufuna obujanjabi okuva mu basawo abakugu kuba abwetaaga mumangu, kuba asuubira nti yafunye Internal Bleeding.

Bamalayika ba Mukama Katonda babeere naawe Bobi mu kaduukulu gyoli mu barracks ya Millitary gyoli gyesiri.

Mukama Katonda tukusaba otulwanire olutalo luno ffenna nga Bannayuganda.

Leave a Reply