Abadde avuganya ku kifo ky’obwa Pulezidenti Kakensa Venansius Baryamureeba akkirizza nti yawanguddwa mu kalulu k’obwa Pulezidenti akaakafundikirwa.
Wabula agamba nti abo bonna abakukkuluma nti tebaamatidde na byavudde mu kalulu bayite mu mateeka amatuufu okwemulugunya. Wabula ayongerako nti kwo okulonda kuno kwabaddemu obumulumulu obutagaana kukkiriza byakuvuddemu.
Ayongerako nti agenda kuyozaayoza Pulezidenti Museveni olw’obuwanguzi nti era waakukwata Manifesto ye agiwe Pulezidenti Museveni.
Abadde ayogerera mu lukungaana lwa bannamawulire ku Hotel emu mu Bugoloobi.