Abazimbi nga bakulirwa Victor Byaruhanga bazudde emmundu 8 nga zizikiddwa mu ttaka bwebadde basima omusingi gw’emizigo gyamadduuka. Zino zazuliddwa mu maka g’omugenzi James Karambuzi nga yali mulwanyi wa Front for National Salvation (FRONASA) mu Igabiro cell Mwanjari ward mu district y’e Kabaale.
Ebbiri ku mmundu zino kika kya Sub Machine Guns-(SMGs), nga ate endala kika kya Semi-Automatic Rifles-(SAR). Athanasius Mujaasi, nga ye Ssentebe wa LCI Igabiro cell, agamba nti abazimbi bawaddeyo emmundu zino ku Poliisi.
Ye omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Kigezi Elly Maate agamba nti emmundu zino ezazuuliddwa zikuumibwa ku Poliisi y’e Kabale, era nga wadde nga emmundu ne magazine byatalagga bagenda kubitwalira abakugu babyekebejje balabe oba bikyasobola okukola.