Basatu bakwatiddwamu bubbi e Kabale

Edison Asiimwe 46 nga mutuuze w’e Rwabakina mu Nyanja Maziba Sub County, Martin Byaruhanga 31 nga muvuzi wa boda boda nga mutuuze w’e Kinyu, Central division, Kabale Municipality ne Benson Katamba 38, nga mutuuze w’e Katete central, Katete ward, Nyamitanga division, Mbarara Municipality nga bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa Poliisi n’ebitongole ebirala eby’ebyokwerinda.

Elly Maate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti Poliisi yasobodde okuzuula emmundu y’ekika kya  AK47, Uniform za Uganda Peoples Defense Forces -UPDF 2 ne ya Uganda Wildlife Authority-UWA, ejjambiya, Pikipiki ekika kya Bajaj nnamba UEK 649R.

Maate agamba nti Byaruhanga y’abadde avuga ababbi bano nga akozesa Pikipiki gyebabbira ku mudumu gw’emmundu okuva ku Phenehansi Niwagaba omwezi oguyise.

Asiimwe yasangiddwa n’emmundu wamu ne Uniform y’amaggye wamu ne ya Uganda Wildlife Authority wamu n’ejjambiya zebakozesa okubba.

Leave a Reply