Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Masaka Sylvia Nvanungi olunaku olwaleero asindise ku alimanda abantu 3 okutuusa nga 19-December-2022 mu kkomera lya Ssaza e Masaka nga bano bavunaanibwa okwenyigira mukubba ebigezo ebyakamalirizo ebyekibiina ekyomusanvu (PLE) ngomusango baguzza wakati wa 8 ne 9 November bwebasangibwa nebigezo bino.