Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu ne Uganda Police Force katutte abantu 3 mu Kkooti y’e Makindye nga bano bebakulira ababazzi b’e Nsambya (Nsambya Furniture Traders Agency) bano kuliko; Muleke Moses, Mugoya Kennedy ne Kagiri Edward ku bigambibwa nti babulankanya obukadde 132 ezaali ezokusengula ababazzi. Bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 31 March 2022.