basatu batiddwa mu bubbi e Mukono

Abasajja 3 bakubiddwa amasasi agabatiddewo bwebadde bawanyisiganya amasasi n’abakuumi ba Biyinzika Poultry Farm e Mukono. Abasajja 10 ababadde babagalidde n’emmundu emu balumbye farm eno ekiro ekikeeseza olwaleero ku ssaawa nga munaana ogw’ekiro nga bagezaako okubba enkoko.
Mukuwanyisiganya amasaso 3 ku babbi bano bakubiddwa amasasi agabatiddewo nga omu kubbo ategeerekese nti ye James Adrey ow’e Ngora Disitulikiti. Poliisi era ezudde ebisawo by’enkoko nga omuyiggo gukyagenda mu maaso okunoonya abalala abadduse.

Leave a Reply