Oluvannyuma lw’okubalumiriza okubeera emabega w’ebikolwa ebityboola eddembe ly’obuntu, watandikidwaawo kaweefube w’okusomesa abakkessi b’amagye mu ngeri eyenjawulo.
Kaweefube ono akulembedwamu ekitongole ky’amawanga amagatte ekivunaanyibwa ku kutumbula eddembe ly’obuntu mu Uganda ki ‘United Nations on Human Rights in Uganda’
Atwala ekibiina kino, Nicole Bjerler, yasinzidde ku kitebe kya minisitule y’ebyokwerinda e Mbuya mu kuggulawo omusomo gw’ennaku essatu ku Lwokubiri, n’ategeeza nti newankubadde wabaddewo ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu, wabaddewo okukendeera mu misango bw’ogeraageranya n’ebiseera ebyayita.
Col. Sserunjoji Ddamulira, eyakiikiridde akulira ekitongole kya CMI mu ggwanga, Brig. Abel Kandiho, mu musomo guno yatenderezza aba United Nations on Human Rights in Uganda, olw’okubalowozaako ne babaleetera emisomo nga gino.
Sserunjoji era yakubirizza abaasomeseddwa okuwang’ana ekitiibwa okusobole okuzimba omutindo nga baddukanya emirimu gyabwe kubanga, UPDF ggye lya bantu.
Ye akulira eby’eddembe ly’obuntu mu kitongole kino, Monalisa Nowe Kakono, yategeezezza nti ekigendererwa ky’omusomo guno kwongera kukendeeza ku kutulugunya abantu naddala mu biseera by’ebikwekweto eby’enjawulo.
Bino bigenze okubaawo nga n’akulira ekitongole kya Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, yakavaayo n’alabula basajjabe okwewala okutyoboola eddembe ly’obuntu nga bakola emirimu gyabwe.
Ochola bino yabyogeredde ku ttendekero ly’abaserikale ba Poliisi e Bwebajja ku Lwokubiri, bwe yabadde aggulawo omusomo gw’abaduumizi ba Poliisi (RPCs) mu bitundu eby’enjawulo nga gwetabidwaamu n’abakulira ebitongole bya Poliisi eby’enjawulo (Department Directors) nga gwakumala ennaku nnya nga guyinda.