Entiisa ebutikidde abatuuze be Rakai ku kyalo Lwanda mu Lwanda Zone B bwebasanze omulambo gw’omusajja ategerekese nti ye Lutaaya Peter 42 nga attiddwa mu bukambwe. Peter nga abadde musuubuzi wa mwanyi era nga abadde mutuuze ku kyaalo Bulongo mu muluka gw’e Buyamba mu ggombolola y’omu Ddwaniro.
Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kino Lameck Kigozi agamba nti ono oluvannyuma lw’okutunda emwannyi ze yayitiddeko mu bbaala emu e Lwanda era nga bweyamaze okunywa omwenge yasasudde nasalawo adde ewuwe, wabula yateegeddwa abantu abatanategerekeka nga kirowoozebwa nti bamulabye ne ssente nebamukuba omutwe nebagwasa era nga omulambo gwe gusangiddwa nga gugalamye mukitaba ky’omusayi.
Mukisera kino Poliisi ekutte abantu basatu nga bano kigambibwa nti babadde naye nga atunda emwanyi era nga balabiddwako naye mu bbaala. Ku bano kuliko; Matovu George, Kalwanyi Simon ne Natukunda Deborah nga ono abadde muganzi wa Peter. Lameck agamba nti Kalwanyi Simon Poliisi emusanze ne Million bbiri (2,000,000/=) zalemeddwa okunnyonyola wa gyeyazijje.