Abatuuze ku kyalo Ssenge mu Disitulikiti y’e Wakiso baguddemu eky’ekango
bwe bagudde ku mulambo gw’omusajja atannamanyika nga gusuuliddwa mu
kibira kya kalittunsi.
Gusangiddwako ennyondo n’emitwalo 2 wabula
nga tegulina wadde ekiwandiiko. Poliisi okuva e Wakiso eggyewo omulambo
ne gutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago ng’okunoonyereza ebikwata ku
mugenzi bwe kugenda mu maaso.