Batemyetemye Maama ne Taata nebabattirawo e Kamuli

Poliisi e Kamuli etandise omuyiggo gw’abebijambiya abalumbye amaka nebatematema omwami, omukyala nebabattirawo nebaleka muwala waabwe nga apookya nabisago.

Omwogezi wa Poliisi mu Busoga, Micheal Kasadha agamba nti abatemu bayise Kisuule Ndirugendawa, 63 afulume ku ssaawa nga munaana ogw’ekiro nebamutemako omutwe, oluvannyuma nebalumba ne Mukyala we Frances Namusaabi 47, omusomesa ku Bwoko Nursery School mu gombolola y’e Nabwigulu, eybadde akuba enduulu naye nebamutematema nafiirawo.

Ye muwala waabwe Gloria Namugolo 19, eyaze okudduukirira bamutemyetemye nebamuleka nga apookya era naddusibwa mu ddwaliro lya Kamuli Mission Hospital n’oluvannyuma naweerezebwa mu ddwaliro lya jinja Regional Hospital. Ye Mutabani w’omugenzi Emmaneul Mwebaza 27, eyabadde yekwese mu nnyumba erinanyeewo agamba nti abatemye bazadde be babadde ne Boda Boda ebalinze.

Kigambibwa omugenzi abadde alina emisango gyagoberera nga era waliwo n’abatuuze abamu abali ku alimanda mu komera e Kamuli nga kigambibwa nti batta omusawo w’ekinnansi. Kigambibwa nti omugenzi wiiki ewedde yagenda mu kkooti okuwa obujulizi.

Leave a Reply