Akabenje kagudde ku luguudo lwa Kampala – Mbarara, Bbaasi ya kkampuni ya Global nnamba UBB 985M bwegudde Ddereeva bwemulemeredde olw’enkuba ebadde etonnya ng’oluguudo luseerera.
Akabenje kagudde Kyekurura nga wakava e Kinoni mu Disitulikiti y’e Lwengo. Omuntu omu yalumiziddwa ennyo mu kabenje kano n’abalala nebabuukawo n’ebisago ebitonotono.