Bbanka engwira zitunyunyuta okusinga okutugagawaza – Hamis Kiggundu

Omusuubuzi w’omu Kampala Kiggundu Hamis owa Ham Enterprises U Ltd avuddeyo nayanukula ekibiina ekitaba amabbanka mu ggwanga ekya Uganda Bankers’ Association nga yebuuza nti bwekiba nga Bbanka zino ziriwo kugaggawaza Bannayuganda lwaki oli bwagenda okwewola agendayo nga alina ebintu bye ebikalu nga ebizimbe ate navaayo nga mwavvu nnyo! Ayongera okwebuuza nti Bannayuganda bebatamanyi nkwata ya ssente oba enkola ya bbanka yenkyaamu!
Hamis agamba nti ekisinze okukuumira Bannayuganda emabega kwekwesanga nga abasinga mu bifo ebitambuza bbanka zino bagwira abateekawo ebiragiro ebinyigiriza Bannayuganda nga amagoba agasusse n’ebiringa ebyo.
Hamis agamba nti Yuganda yetaaga bbanka ezitandikiddwawo Bannayuganda era nga ziddukanyizibwa Bannayuganda abalina ekifaananyi ekituufu ekyentambuza y’emirimu mu Ggwanga.
Hamis asaba Bannayuganda basitukiremu bukukubira baveemu ekyokweraba nga abatasobola bawakanye ebintu ebyo ebibanyigiriza nga bali okwabwe.
Agamba nti tulekerawo okutunuulira abagwira/ abazungu nga bakatonda kuba naffe bingi byetubasinga. Tusaana tukwatire wamu nga eggwanga okulaba nti watekebwawo enkyuukakyuka mu kwewola ensimbi, ebyenfuna n’ebintu ebirala ebitumbula Bannayuganda.
Leave a Reply