Bbokisi z’obululu ezimu zituusiddwa nga tezirina seal

Seal zabbokisi ezimu ezebigenda okukozesebwa mu kulonda zituusiddwa ku offiisi z’akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda mu Disitulikiti y’e Hoima ne Koboko nga zamenyeddwa.
Abavunaanyizibwa ku byokulonda mu Disitulikiti y’e Hoima bafunye ebokisi 112 enkya yaleero nezigabibwa wabula abamu ku ba agent babesimbyeewo nebakizuula nti seal ezimu zabadde zikutuddwa ate nga endala tezirina seal.
Douglas Masiko, Returning Officer wa Disiutlikiti y’e Hoima agamba nti seal zino zandiba nga zakutukidde mu kubo nga zireetebwa okuva e Kampala.
Abesimbyeewo e Hoima bategeezezza nga bwebafunye abavubuka abagenda okukuuma obululu buno okuwewala okukwatibwako wabula akulira Uganda Police Force e Hoima DPC Ongica Micheal ategeezezza nti tebagenda kubakiriza kusalimbira ku offiisi z’akakiiko nti abasirikale baabwe bebagenda okukola omulimu gw’okukuuma obululu buno.
Bbo abakulira ebyokulonda mu Disitulikiti y’e Koboko, bategeezezza nti ezimu tezibadde na seal naye ekyo tekitiisa bagenda kufuna seal endala.
Leave a Reply