Bbomu ekubye 2 e Njeru nebattirawo

Kitalo!
Abantu 2 bakubiddwa ekigambibwa okuba bbomu ne bafiirawo mu Njeru Municipality, mu Disitulikiti y’e Buikwe. Enjega eno egudde ku kyalo Triangle, abalonda sikulaapu gyebakolera ku luguudo lwa Nile – Kayunga. Okusinziira ku berabiddeko, bagamba basoose kuwulira kubwatuka okwamaanyi nebalowooza nti kabenje. Abebyokwerinda batuuse dda mu kitundu okunoonyereza ku kibaddewo.
Leave a Reply