Bannyuganda abawerako kati gebakaaba gebakomba oluvannyuma lwa Kkampuni ya Japan ebadde ereeta emotoka wano mu Yuganda okuva e Japan eya Be Forward okuggalawo offiisi zaabwe mu Yuganda.
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango yategeezezza nga Poliisi bwetandise okukola ogwayo gweyagunjukira ogwokunoonyereza ku kkampuni ya BE FOWARD kubigambibwa nti yanyaze Bannauganda obuwumbi bwensimbi. Poliisi egamba yakafuna okwemulugunya okuva mu Bannayuganda 20 abalumiriza ba agenti ba kkampuni eno obutabaleetera mmotoka zaabwe ate nga baamala dda okuzisasulira. Bbo ababadde baddukanya Kkampuni eno mu Yuganda baliira ku nsiko ngabakozi 2 bokka bwebakwatiddwa Poliisi.