Bebaaliridde ez’ekibiina bookezza emotoka z’abantu

Emotoka ezisoba mu 10 zigiiridde mu muliro ogambibwa okuba nga gukumiddwa ba mmemba ba SACCO ababadde babanja ssente zaabwe zebabadde batereka. Omuliro guno gutandise ku ssaawa kumi ezookumakya negukwata Garage omubadde emotoka nga 14, akakolero akatono, ebbajjiro, ebyalani, ekifo webawummulira wamu ne sitoowa z’ebintu.
Enjega eno egudde Kubbiri mu Mukwenda Zone, Makerere 1 Parish. Okusinziira ku ssentebe w’ekitundu Juma Kavuma agamba nti waliwo SACCO gyatayagadde kwatuukiriza mannya ekulemberwa omukyala Ruth Nakakawa nga Bammemba baayo babadde balina okugabana ensimbi zaabwe eziri wakati w’obukadde 15-20 nga 18 December nti wabula olunaku lwatuuse nga Nakakawa talinaawo yadde ekikumi ekyaviiriddeko Bammemba okwekalakaasa.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply