Bebe Cool, Bobi Wine gwewali omanyi mulala nnyo ku wakakati – Adrine Nsubuga Snr

Munnabyamizannyo

Aldrine Nsubuga Snr; “Mbadde nina kubeera mu lusirika okumala omwezi mulamba nga nkungubagira omusambi wange ow’omupiira DM10, wabula kanveeyoko olw’ensonga eno n’oluvannyuma nzireyo mu lusirika.
Ggwe Bebe Cool, ye Pulezidenti Robert Ssentamu Kyagulanyi, otembeya t-shirt za kyenvu. Okulaba obulabi ku Bobi Wine ebikumi n’ebikumi byabamwagala abawaayo obulamu nebajja gyali nga badduka. Okumulabako obulabi, abomubyalo bawuga okuyita mu migga omuli emisota, balinnya emiti n’ennyumba, abalala balinnya butunnumba. Bannakibuga bagumira amasasi, omukka ogubalagala, okukubwa n’abalala balugulamu obulamu lwa Bobi Wine.
Ofukamira wansi newegayirira omusajja omu okukuwa, obugagga n’emikisa okuva mu Bobi nga tolina nakyokoze.
Okimanyi bulungi ebbeeyi yo yaggwa kuba Bebe Cool tekirina kyekitegeeza eri bantu kati okyuusizza mu bukodyo, buli kigambo, buli post, buli interview, buli kifaananyi kyoteekayo kibeera ku Bobi kati.
Ofuuse omuntu asinga okumwegomba, okitgedde kati nti Omwana wa Ghetto ye ddiiru eriko. Tukwanirizza mu nsi yaffe Bebe Cool. Kati ndowooza okitegedde omunene yani?
Eno y’ensonga lwaki Bobi Wine talina budde bukwanukula. Yalabira nti oba okyalinayo. Naye ggwe tosobola kumwerabira yadde akatikitiki akamu bwekati kuba akubeera ku mutima ssaawa 24 enaku 7. Kigumire, kuba eyo y’ensi empya mwoli.
Weebale kukola mulimu gwa kitunzi eri omwana waffe. Byokola enaku zino mbyagala Bebe, oli ku mulamwa clear buli lunaku, abawagizi bo bagoberera Bobi Wine nga bayita ku FB page yo, wamu ne mu interview zo entegeke. Ekyo bakiyita kutunda muntu nga okuba akalango. Ako kalango akatali kasasulire akakolebwa omuntu eyefuula okuba nti yakyaawa nnyo Bobi Wine. Abawagizi bo abalibadde balina okuba nga basoma ku campaign za NRM buli lunaku obulaga campaign za mwana wa Ghetto ezikutte nga oluyiira, ye mwagalwa w’abantu.
Buli lukya mu maaso n’obwongo bw’abawagizi bo n’abakusasula osiigamu langi myuufu mu kifo kya kyenvu. Tukusiima nnyo, weebale nnyo webalire ddala.
Wandiba nga wakoowa ekibiina kyo ne Pulezidenti wo era nga okunoonya akalulu ka NRM tekikuwa ssanyu. Kati obuukidde ekiggaali ekitambula kuba mu Bobi mwofunira essanyu, amaanyi n’obwagazi. Kino kyobadde osubwa. Oli munyiivu era olabika oswala kati nti byoteekayo ku kibiina kyo mpaawo abyogerako era tebisikiriza bantu nakatono. Kait okuba enyukira nonoonya erinnya erisika erya Bobi Wine. Wefuula amuvuma, wabula omwongera kimukolera.
Kati kino ky’ekifaananyi ekituufu;
Olowooza kino tekinnyonyola nti ggwe Bebe Cool? Obulamu obwokwekubagiza bwowangalira.
Okwawukanako naawe, ye Bobi Wine alabibwako nga yetooloddwa enkumi n’enkumi za Bannayuganda gwe bonyumirwa okuyita Bannakyalo, ebifaananyi bye nga ali mu suit ejjudde enfuunfu, amaaso agajudde amaziga olw’omukka ogubalagala, agajjudde otulo, face ezimbye n’emipiira gy’emotoka egikubiddwa, endabirwamu ezasiddwa, emirambo gy’abawagizi be. Ebira biba byassanyu, kujaganya, kusaakaanya, kuseka, kuzina n’ebirala. Abantu abasanyufu abafuna akaseera akasenyu n’omununuzi waabwe gwebenyumirizaamu.
Kino kyoleka lwatu enjawulo wakati w’abantu babiri abatali ku mutendera gumu abalabikirako mu kifaananyi kimu eky’abayimbi naye nga kati tebakyali.
Omu ali mu bulamu obwokwerimba nga yekubagiza ate omulala ali mu bulamu ddala obw’abantu be abamulaba nga omuzira, akabonero ak’essuubi eri Eggwanga. Jjolyabalamu Bobi kati alowooreza Ggwanga ate ye Bebe alowooza ku motoka ennene etaliiko nnamba, ennyumba ennene, empale ennyimpi ne tshirt ya kyenvu wamu n’olugambo.
Eno y’enjawulo eriwo wakati wa Bebe Cool ne Bobi Wine, kati ddayo ogira otambuza ku t- shirt eza kyenvu oli omwana ali mu interview ne CNN, BBC, SkyNews, New York Times…etc bangi nnyo. Tewali budde..omwana tabulina. Ekiyinza okumulemesa ssasi. Kye bayita Big Size.
Kati mundeke nzireyo mu sabatiko.”
Leave a Reply