‘Bebe Cool fuba okukuza abaana bo baleme kubeera nga ggwe’ – Pallaso

Wolokoso;
Omuyimbi Pallaso avuddeyo nawabula Bebe Cool; “Jose Chameleone alina ebiwandiiko ebimusobozesa obulungi okwesimbawo ku bwa ‘Lord Mayor’ era nebwebiba tebiwera asobola okwongerako kuba ebulayo emyaka ebiri okutuuka mu 2021. Fuba okulaba nga osigala mubyotegeera.
Sitera nnyo kwagala kulumbagana bantu naye Bebe Cool ansobera, yefaako yekka, era nga yeyagaliza yekka. Tali muyimbi n’omu gweyali aleese namuwagira nabeerawo okutuuka kati, wabula kyakola kyokka kulwanyisa bavuddeyo.
Yagezaako okuleeta ba Kiwoko Boys wabula ate yabaleeta kulwanyisa bayimbi banne abaali bavuddeyo, bweyaleeta Rema Namakula, nafumbirwa Eddy Kenzo ate kyamuluma nnyo nga alinga atali mufumbo.
Anjogerako nnyo ne nebuuza lwaki?! Okutegeerakwo kwanjawulo ku kwange, oli mukulu kunze. Bye nnyimba ku myaka gyange bisinga ebibyo byoyimba ku myaka gyo.
Emyaka emitono gyembaddewo nsobodde okwekolera ebintu ebiwerako naye ggwe oliwo kukusabiriza olaba ne bwolwala era bakusasulira ebisale by’eddwaliro! Twandifundikira nga tukoledde n’embaga kuba kirabika kyolinda.
Bebe Cool, ensi teriiwo ku lulwo, ffenna tuli Bannayuganda. Fuba okulaba nga okuza era oweerere abaana bo basobole okubeera n’entegeera eyawuka ku yiyo.”

Leave a Reply