Beshenyi awuumye – Mikolo gya meefuga

Emikolo gy’ameefuga egy’omulundi ogwa 55 gigenda mu maaso mu Disitulikiti y’e Bushenyi era nga Pulezidenti Museveni ye mugenyi omukulu .

Emikolo gino gikuziddwa ku mulamwa ogugamba nti :
“Eddembe mu Yuganda lirina okugobererwa omwoyo gw’okukola ennyo ate n’okwewayo”. Ku mukolo gwegumu emidaali kkumi gigabiddwa nga mu baweereddwa mwemubadde ne His Highness the Agha Khan atadde ettafaali eddene ku nkulaakulana ya Yuganda .

Leave a Reply