Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Winnie Nankya agaanye ekyokulagira ekitongole ky’amakomera okuyimbula Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye kuba yayimbulwa ku kakalu ka Kkooti mu Kkooti eno nti ate Kkooti Ensukulumu yalagira abo bonna abavunaanibwa mu Kkooti y’Amaggye okulekerawo okuvunaanibwa batwalibwe mu Kkooti yabulijjo ekitanakolebwa.
Wabula Omulamuzi ategeezezza Bannamateeka ba Besigye nti embeera y’obulamu gyalimu temusobozesa kuwozesebwa mu kadde kano bwatyo nategeeza nti omusango guno gwakuyimirira okumala emyezi 6 okusobozesa Besigye okufuna obujanjabi.
Bya Christina Nabatanzi