Col .Dr. Kizza Besigye avumiridde Police olwokulinnyiriranga eddembe lye nga emugombamu obwala entakera gattako okumutangira okukozesa enguudo ezimu nga aliko gy’alaga .
Besigye enkya ya leero alabiseeko mu kooti okweyanjula ng’atuukiriza ekimu ku biragiro bya kooti ebyamuteekebwako ng’ayimbulwa ku kakalu ka kooti gyebuvuddeko .
Dr . Besigye agamba nti Police yennyini yeegenda mu maaso n’okumuggulako emisango gino kyokka bw’atuuka mu kooti negimuggibwako kyokka n’eddamu okumukwata wamu n’okumugaana okukozesa enguudo ezimu .
Okwogera bino abadde yeekuusa ku byabaddewo olunaku lw’eggulo bweyagombeddwamu obwala ng’ava ku kkoti e Makindye oluvannyuma lwa kooti okugoba emisango egibadde gimuvunaanibwa egy’okujeemera ebiragiro bya Police .
Bw’atyo yeerayiridde nga bw’atagenda kukkiriza Police kugenda mu maaso nakulinnyirira ddembe lye ery’obwebange okutambula n’okunoonyeza abantu be eky’okulya .
Besigye aggyakuddamu okweyanjula eri kooti nga 09 omwezi gwa Mutunda .