Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Rtd. col. Dr. Kizza Besigye oluyimbuddwa ku kakalu ka Kkooti nayolekera Poliisi ya CPS okubanja emotoka ye gyeyakazaako erya War Machine eyaboyebwa Poliisi lweyakwatibwa nga yekalakaasa mu kibuga Kampala. Ono akakasizza Bannayuganda nti atandikira weyakoma wiiki bbiri eziyise.