Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Wilson Masalu Musene akkirizza Besigye okweyimirirwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 100 ezitali za buliwo. Mukumukkirizza okweyimirirwa omulamuzi alagidde Besigye obuteenyigira mu bikolwa bireeta butabanguko mu ggwanga okutuusa nga omusango ogumuvunaanibwa ogw’okulya mu nsi ye olukwe guwedde .
Omulamuzi era amulagidde okweripootinga mu kooti buli luvannyuma lwa ssabbiiti bbiri n’okufuba okulaba nga akuuma eddembe .
Musene agamba nti asazeewo okuta Besigye ku kakalu ka kooti kubanga ensonga kwasabira okweyimirirwa ziri mu mateeka .
Besigye yasindikibwa ku alimanda e Luzira omulamuzi wa kooti y’e Nakawa, James Eremye nga 16 omwezi gwokutaano .
Oluvannyuma lw’okuyimbulwa , Besigye ayolekedde amaka ge e Kasangati, nga asuubirwa okwogerako eri Bannamawulire olunaku lw’enkya nga 13 / ogwomusanvu .