DPP agudde ku Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nomuyambi we Hajji Obeid Lutale Kamulegeya omusango gwokukya mu Nsi yaabwe olukwe nga kigambibwa nti wakati wa November 2023 ne November 2024 mu bifo ebyenjawulo okuli; Kampala, Nairobi Kenya , Geneva Switzerland ne Anthens mu Greece bakola olukwe lwokweyambisa eryanyi okuggyako Gavumenti eyolondebwa abantu mu mateeka.
Okusinziira ku Munnamateeka wa Besigye Erias Lukwago, Besigye eyimirizza akeddiimo k’obutalya keyatandika okutuusa ngawakanya okuvunaanibwa mu Kkooti y’Amaggye.
Bya Christina Nabatanzi