Besigye ne Lutale babazizzayo mu kkomera

Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ne Hajji Obed Lutale Kamulegeya baziddwayo ku alimanda mu kkomera okutuusa nga 10 December, 2024. Bannamateeka baabwe basabye Kkooti ebawe akadde basobole okufuna satifikeeti eyekiseera eya Munnamateeka waabwe abakulira ku musango guno Martha Karua.
Kino kidiridde ensinsikano etakiriziddwamu bamawulire wakati wa Besigye ne Bannamateeka be nga ekulungudde eddakiika 30.
Bya Chrisitina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply