Besigye ne Lutale bavunaaniddwa emisango 3 okuli okusangibwa ne basitoola mu bumenyi bw’amateeka

Oludda oluwaabi olwamaggye mu musango oguvunaanibwa Dr. Kizza Besigye wamu ne Hajji Obed Lutale nga lukulembeddwamu Reaphel Mugisha lutegeezezza Kkooti nti wakati wa October 2023 ne November 2024 mu bibuga okuli Athens ekya Greece, Geneva ekya Switzerland ne Nairobi ekya Kenya, Besigye ne Hajji Lutale batuuza enkiiko nekigendererwa ekyokusonda ensimbi n’ebintu ebirala basoble okutaataganya ebyokwerinda bya Uganda.

Bano bavunaaniddwa emisango 3 okuli okusangibwa ne basitoola 2 n’amasasi 8 nga bino baabirina mu kaseera webabakwatira ku Riverside Apartments e Nairobi mu Kenya nga 16 November ekimenya amateeka.

Besigye ne Lutale begaanye emisango era Munnamateeka waabwe Erias Lukwago nategeeza Kkooti nti bano bombi bayingira Eggwanga lya Kenya mu mateeka era bakirizibwa bulungi. Ayongeddeko nti tewali bukakafu bwonna bulaga nti bano bamenya amateeka mu Kenya neyewuunya engeri amateeka g’Eggye lya UPDF ate bwegakola e Kenya.

Lukwago ayongeddeko nti olwokuba bano tebalina tteeka lya visa lyonna lyebamenya oba ekiwandiiko ekitongole ekisaba bano okuzzibwa mu Ggwanga mu mateeka bano bakyali Kenya tebaddanga Uganda mu mateeka.

Ono asabye Brig. Mugabe okugoba omusango guno bano abayimbule. Bano basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 2 December lwebanadda mu Kkooti okusomerwa emisango egibavunaanibwa.

Bya Christina Nabantanzi

Leave a Reply