Jack Sabiiti Munnakibiina kya Forum for Democratic Change; “Ekiruma Kizza Besigye nti ffe tulina ekkomo ku bisanja era tukiririzaamu nnyo. Kubanga yali alowooza nti ajja kukola nga Yoweri Kaguta Museveni bwakoze mu National Resistance Movement – NRM okubeera Pulezidenti ebbanga lyonna. Kyova olaba nti tugamba Besigye ne Museveni bebamu tebalina njawulo. Kyanaku nti abakulembeze abamu balowooza nti bebalina okukola ekibiina.
Jack Sabiiti e Kigezi yakola kyamaanyi nnyo ku Besigye okumufuula kyali kati, ayinza obutakikiriza kati olwokuba nti kati alwana kutwala kibiina. Besigye yali wamaanyi e Rukungiria gyazaalwa era sikiwakanya, waliyo Amanya Mushega n’abalala, engulu twalina Latigo. Kino kitegeeza nti Besigye siyeyatandikawo FDC. Bwatandika okulimba nti ekibiina kikye, si kikye kibiina kyaffe.”
Besigye ne Museveni bonna be bamu – Jack Sabiiti
