Kooti ye Nakawa enkya ya leero etudde nga Besigye taleeteddwa okuwulira emisango egyamuggulwako egy’okulya mu nsi ye olukwe lwa nsonga za byakwerinda.
Oludda oluwaabi lugamba nti Besigye ateeka ebyokwerinda ku bunkenke nga baagala omusango guno guwulirwe okuliraana Luzira.
Omusango omulamuzi agwongezzaayo okutuusa nga 15 . 06. 2016 ng’asazewo okuguwulirira e Nakawa oba e Luzira.