Minisita wa Kampala, Beti Kamya ng’akozesa obuyinza obumuweebwa
Pulezidenti alonze Ying. Andrew Kitaka nga Dayirekita wa KCCA
ow’ekiseera okudda mu bigere bya Jennifer Musisi eyasuddewo tawulo.
Kitaka atunuuliddwa ng’alina obumanyirivu kubanga y’omu ku bajjira mu
ttiimu ya Musisi mu 2011 era pulaani zonna eza Kampala n’enteekateeka
z’okutereeza ekibuga azibadde wakati.
Kitaka era asigadde y’akulira eby’enguudo mu KCCA.
Kitaka eyakolako ng’omumyuka wa Musisi ow’ekiseera agenda kumyukibwa Samuel Serunkuuma.