BLB eyagala ekyapa kya Ham Towers e Makerere kisazibwemu

Ekitongole kya Buganda Land Board kiwandiikidde Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka mu Ggwanga nga kigisaba esazeemu ekyapa ky’ettaka eriri ku Plot 923 Block 9 nga lino lisangibwa Makerere nga kwekuli ekizimbe kya Ham Towers.
BLB egamba nti KCCA yasala ebyapa ku Mayiro ya Ssaabasajja Kabaka mu bukyaamu eya Block 9 Plot 440. Buganda Land Board egamba nti KCC teyalina lukusa kukola byapa ku mayiro eno kuba obuyinza bwonna bwali mu mikono gya Uganda Land Commission oluvannyuma lwa Gavumenti okuwera obufuzi bw’ensikirano mu 1966.
Leave a Reply