Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nga enkya yaleero bwayiseeko mu Ddwaliro e Nakasero okukebera ku munywanyi we Joseph Mayanja aka Jose Chameleone eyatwaliddwayo olunaku lweggulo. Bobi Wine agamba nti abasawo tebabakiriza kumulaba olw’ensonga nti eddagala likyamugonzezza. Kyagulanyi etegeezezza nti bamusabira era bamwagaliza okussuuka obulungi.
#ffemmwemmweffe