Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine: “Okwemulugunya kuno nakuteekayo emyaka 5 egiyise. Ssentebe ne bammemba Akakiiko kano Ssemateeka akawa obuyinza okukuuma n’okulera eddembe lyobuntu wabula ate kalinyirira lirinyirire.
Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya; “Ssebo bwekiba nti ekyo kyoyogedde kuba kulumbagana Kakiiko. Oli waddembe okuggyayo okwemulugunya kwo. Tetugenda kukukiriza kunyomoola kakiiko. Bwekiba nti ebyo byogenda okwogera togenda kweyongerayo. Olina Bannamateeka abakukiikirira, yita mu bbo. Sigenda kukukirizza kulumiriza kakiiko kulinyirira ddembe lya buntu lyekalera. Tojja kwogera, abebyokwerinda baliwa?
Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Naye naawe Ssentebe wennyinyi wakudaalira abantu abawambibwa.
Nabwekityo nziggyeyo okwemulugunya kwange mu kakiiko kano kuba tekalina bwenkanya yadde okwetengerera. Tewetengeredde yadde era toli mwenkanya, kugonjoola nsonga eno. Akakiiko kalina kuyamba bantu ku ddembe lyabwe eryobuntu.”