Munnamateeka Hassan Male Mabiriizi avuddeyo olunaku olwaleero nagenda mu kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka nga ayagala eragire ekkooti y’amaggye okuta Omubaka wa Kyaddondo Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu bwangu wamu n’abantu babulijjo bonna abavunaanibwa mu Kkooti y’amaggye.
Mabiriizi agamba nti Bobi Wine n’abantu abalala abavunaanibwa ekkooti y’amaggye etalina busobozi nga omulimu gwayo gwakubonereza basirikale ba UPDF abatalina mpisa so ssi Bantu babulijjo.
Mukiwandiiko kyawadde Registry wa Kkooti eno agamba nti Parliament yakola ensobi mu kutondawo kkooti eno nga eyita mu UPDF Act 2005 nga egiwa obuyinza okuvunaana abantu babulijjo.
Agamba okuleka nga kkooti ya Ssemateeka eggyewo Kkooti eno abantu abalala nga naye mwali bakyasobola okutwalibwa mu Kkooti eno.
Mabiriizi nga yeyekikirira agamba nti abantu babulijjo nga Bobi Wine singa basangibwa n’emmundu balina kuvunaanibwa muteeka lya Firearms Act erya 1970 mu kkooti eyabulijjo so ssi ey’amaggye.
Ayongera okunnyonyola nti etteeka lino ligamba nti oyo asangiddwa n’emmundu singa gumusinga alina kusibwa emyaka 10 oba okuwa engasi etasukka 20,000/=