Bobi Wine muyaga tabamalira budde muboole – Brig. Tumwesigye

Akulira eby’okusomesa abantu okwagala ensi yaabwe (Patriotism) mu offiisi ya Pulezidenti Brigadier Patrick Tumwesigye avuddeyo nalabaula abavubuka okwewala eggwanga lya Amerika okubasibako ye gweyayise ‘Ssentebe wabanywi b’enjaga.’
Brig. Tumwesigye okwogera bino abadde ku ssomero lya Mvara Secondary School mu Arua nga ayogerako eri abayizi. Brig. Tumwesigye ali bitundu bya West Nile nga atalaaga amasomero nga asomesa abayizi ku kwagala ensi yaabwe.
Ono agambye abayizi okwewala okutwalibwa omuyaga gwa Munnakisinde kya People Power – Uganda Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kuba ono talina kyagenda kubayamba kuba ‘Ssentebe wabanywi b’enjaga’.
Agambye nti Kyagulanyi, ateekebwateekebwa Abazungu mikwano gye okuva mu Amerika nga balowooza nti agenda kubeera Pulezidenti wa Yuganda olunaku lumu.
Brig. Tumwesigye ategeezezza nti Kyagulanyi talina busobozi obuyinza okukuuma ebigendererwa by’eggwanga kuba munafu. Ayongeddeko nti olw’okuba anywa enjaga ate nga ye Ssentebe wabanywi b’enjaga, Abamerika baagala okumukozesa olwokuba bakimanyi nti talina bwongo bwetegereza nsonga bulungi bwatyo nabasaba bwebaba nga balumirirwa eggwanga, bamuboole.
Leave a Reply