Dr. Stellah Nyanzi Munnakibiina kya Forum for Democratic Change; “Ngoberedde era nempuliriza bulungi Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga adda mu babadde bagamba nti mulimba, nti yalimba emyaka, obuzaale bwe, amannya ge okukyuuka wamu nebbanga mweyatuulira ebigezo.
Ndi musanyufu nti ayanukudde abo bonna abaali bebuuza. Ndi musanyufu nti omukulembeze wa people power avuddeyo nalaba omugaso gw’okwanukula era nga kino kyolese nti wabuvunaanyizibwa.
Mwebaza olukuwaayo akadde okunyonyola obumulumulu, mwebaza okubeera ow’amazima nga lwaki natya Taata we yakyuusa omwaka mweyazaalibwa, lwaki yasoma P.6 ne P.7 mu mwaka gwegumu, n’ebuzibu byeyayitamu nga asoma. Musaasidde olw’embeera y’obwavu gyeyayitamu nga asoma.
Nkwatiddwako nnyo nga anyonnyola era nakiriza ebyo byeyaggwa mu bigezo byakamalirizo. Kinkuteko bwannyumizza bweyalemererwa okusoma Ddiguli mu ‘social sciences’ olwokuba teyalina tution.
Agenze mu maaso nagumya abavubuka abayita mu mbeera eyokusoomozebwa nga eyiye mukusoma nabasaba balemereko wadde waliwo okusoomozebwa nga okukyuusakyuusa amasomero wamu n’okusoma obubi.
Njagadde nnyo engeri gyasunsuddemu ebiriwo kati mu byobufuzi nebyo ebyayita omuli n’okutulugunyizibwa kwe. Njagadde nnyo ekifaananyi kyakubye wakati we ne Dr. Kizza Besigye nga basiigibwa ekifaananyi ekibi okuboonona. Bobi Wine kabulaaza kino kinyambye okutegeera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Leero lunaku lulungi eri okwenunula kwa Yuganda. Bobi Wine akomezaawo obwesigwa bwa Bannayuganda nga bawa ebyo byebabadde betaaga okumanya.
Abakulembeze nga Bobi Wine abawuliriza nebanukula tubetaaga nnyo mu kwenunula. Eeeh, Bobi Wine oyeeeeeee! People Power!!!”