Abakulembeze okuva mu National Unity Platform nga bakulembeddwamu Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine n’omwogezi w’ekibiina Hon. Joel Ssenyonyi begasse ku bakulembeze mu Kibiina kya Forum for Democratic Change – FDC mu Soroti East okunoonyeza akwatidde FDC bendera, Moses Attan akalulu. Kino kyongede ebbugumu mu kalulu era Bannakibiina bawera nti akalulu bakukawuuta buva.