Bomu ekubye abaana 9 omu n’afiirawo mbulaga omunaana neguddusibwa mu malwaliro omuli Mulago ne Mengo nga embeera mbi ddala .
Akubiddwa Bomu atannategeerekeka mannya ge ateeberezebwa okuba mu myaka 12 ate abalala bali mu myaka 16, babadde mu kasaawe okuliraana Ring Road kumpi n’o lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Mengo . Kiteeberezebwa nti abaaana bano babadde bazannyisa akantu akalinga akuuma nga bakeekasukira ekizuuliddwa oluvannyuma nti ebadde bomu nga yali yeeziika mu ttaka okumala akaseera .
Ayogerera Police mu ggwanga Fred Enaga akakasizza bino era n’agamba nti police esindise abakugu mu bya bomu era n’asaasira ab ‘enganda .