Brain Bagyenda yatta Enid nga ategeera – Omulamuzi Kazibwe

Omulamuzi wa Kkooti enkulu Moses Kazibwe avuddeyo olunaku olwaleero nasigisa Brian Bagyenda mutabani w’akulira ekitongole kya ISO Col. Kaka Bagyenda omusango gwa’okutta muganzi we Enid Twijukye 22. Omulamuzi avuddeyo nawakanya Bannamateeka ba Bagyenda kyebabadde bagamba nti Bagyenda yali tategeera bulungi mu kiseera weyaddiza emisango gino.Omulamuzi agambye nti yadde Bagyenda yakeberebwa nazuulibwa nti yalina okwenyika emeeme okw’amaanyi era natwalibwa e Butabika obujulizi bwoleka lwatu nti yali ategeera bulungi byakola. Omulamuzi asinzidde ku bujulizi obwaleetebwa obulaga nti Bagyenda yatuma omukozi waabwe owawaka ku Kalerwe nga ategeka ettemu, naggalawo amadinisa wamu n’enzigi saako curtain, nayongeza ne TV. Era olwamala okuttemula yaddukira e Masaka, bweyakomawo e Kampala teyagenda mu makaage e Luzira wabula yapangisa woteeri nga akozesa amannya amalala.Bagyenda avunaanibwa ne banne abalala babiri okuli; Bainomugisha innocent ne Vicent Rwahirwe nga obujulizi bwoleka lwatu nti bano benyigira mukutegeka ettemu.Oludda oluwaabi lusabye nti Bagyenda ne banne baweebwe ekibonerezo eky’amaanyi olukutwala obulamu bw’omuwala omuto. Enid yali muyizi wa mwaka gwakubiri ku Ndejje University ate nga ye Bagyenda yali Pharmacist ku Ddwaliro e Mulago.Omulamuzi Kazibwe ayongeddeko nti okusinziira ku sitaatimenti gyeyakola ku Poliisi ya Jinja Road yakiriza nti yatta muganzi we oluvannyuma lw’okukizuula nti yalina omusajja omulala era yagezaako okusuula omulambo gwe mu nagusuula mu kifo gyegwali gutasobola kuzuulwa.

Leave a Reply