Buddu ewangudde empaka z’amaato

Empaka z’amaato ; Buddu oyee
Buddu ewangudde empaka z’amaato g’amasaza. Bulemeezi kyakubiri, Busiro kyakusatu. Ssaabasajja Kabaka aggaddewo empaka z’amaato mu Masaza eziyindidde ku mwalo e Nabugabo. Beene basoose kumuwungula mu lyato Omutaka Gabunga ow’ekika ky’emmamba. Oluvannyuma Omutanda asimbudde amaato era nga okuvuganya kubadde kwamaanyi newankubadde Buddu ebadde ya nkizo. Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya Prof. Twaha Kigongo Kaawaase yeebazizza Beene olw’okuzzaawo empaka zino ezireeseewo obumu mu bantu ba Buganda. Ye Minisita w’eby’emizannyo, abavubuka n’okwewummuza, Henry Kiberu Ssekabembe ategeezezza nti empaka zino zigendereddwamu okubunyisa enjiri y’okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya mu basajja ne mu balenzi. Abayimbi Geoffrey Lutaya, Irene Namatovu, Mathias Walukagga ne Winnie Nwagi, basanyusizza Omutanda. Zino empaka za mulundi gwakusatu nga nezasembayo Essaza lye Kabula lyeryaziwangula mu mwaka gwa 2017. Omukolo gwetabiddwako omumyuka wa president, Edward Kiwanuka Ssekandi, Omumyuka wa Katikkiro asooka Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era Omuwanika wa Buganda Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Baminisita ba Kabaka abaliko n’abawummula, abaami b’amasaza, Abataka Abakulu b’obusolya, abakiise mu Lukiiko lwa Buganda, bannabyabufuzi, n’abakungu abalala bangi.

Leave a Reply