Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti Esther Mbayo avuddeyo nasaba ekkanisa y’Abakatuliki n’Obwakabaka bwa Buganda okwemalira ku bigendererwa byabwe nga ekkanisa n’Obwakabaka besonyiwe okwenyigira mu byobufuzi.
Ono yategeezezza nti buli omu amaanyi ge agamalire ku byalina okukola, bwoba kkanisa wemalire kukulyowa emyoyo, bwoba munnabyabufuzi wemalire ku byabufuzi. Bwoba oyagala kuyingira byabufuzi egganduula gisuule ebbali oyingire olwokaano. Ono agamba nti nazzikuno nga amakanisa matono nga nabonoonyi batono, naye gyegakomye okweyongera n’abonoonyi okweyongera. Bwatyo nanenya abalyoyi b’emyooyo nti balemeddwa okuzza endiga ezabula besibye ku byabufuzi.
Minisita Mbayo yagambye nti n’obwakabaka bwa Buganda bubadde bukyogera lunye nti abantu balonde abo bokka abanalwanirira ensonga za Buganda era abagirina ku mutima.
Okusinziira ku Minisita Mbayo agamba nti Archbishop wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga awamu n’abasumba babakatuliki abalala bavuddeyo mu lwatu nebawagira ab’oludda oluvuganya nebaleka Gavumenti mu bbanga.
Nti era ne Katikkiro wa Buganda Katikkiro Charles Peter Mayiga yavaayo nagamba abantu balonde bimyuufu byeyavaayo nabagamba nti emyaanyi bakungule myuufu so ssi ezakyenvu oba ezakiragala nti ekyo kitegeeza ki?