Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agugumbudde ba nabyabufuzi abagugulana nga bakubagana olw’akalulu, agamba nti sikirungi bantu b’awamu kulwanagana lwa kalulu era n’akisimbalo amannyo nti eno Buganda tewali agenda kugikungula nti fenna tugenda kufa tugirekewo.
Bw’atuuse ku Buganda w’eyimiridde ku besimbyewo, agambye nti bawagira oyo yenna awa Kabaka ekitiibwa so ssi abo abamumunyala nga bayisa etteeka ebbi ku Buganda, nti omugamba oyinza otya okumumunyala ku nsonga za Buganda! !
Ekifaananyi kiva ku page ya Katikkiro.