Busiro awuumye ku mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka

Ensi n’ ensi y’abantu ekuluumulukuse okuva ebule n’ebweya okweyiwa ku ssomero lya Lubiri High School erisangibwa e Buloba mu Disitulikiti y’e Wakiso mu ssaza ly’e Busiro okwetaba ku mikolo nga Obuganda bujaguza olwa  Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 okuweza emyaka 62 egy’okuyuuguuma. 

Ebikujjuko by’emikolo gino byatandika ku sssabbiiti ya wiiki ewedde era nga byasooka na misinde mubuna byalo n’ekigendererwa eky’okulwanyisa obulwadde bwa nnalubiri(Sickle cell) nga gyasimbulwa ye Kennyini Omuteregga wali mu Lubiri e Mengo.

Awo nno bugenze okutuuka olwaleero nga abantu ba Beene bazimbye era nebayooyoota ebiyitirirwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana era kumpi mu buli ka tawuni okutuuka e Buloba kabaddemu ekiyitirirwa nga kwotadde n’embuuti ezibadde zivuga obuteddiza.

Ssaabasajja Kabaka wakati mu nnamungi w’omuntu amwanirizza ng’akulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga,  bwatuuse ku ssomero lino agguddewo ekizimbe galikwoleka era  amatiribona ekimuweereddwa nga ekirabo ky’amazaalibwa ge ekituumiddwa erinnya – NNAMASOLE SARAH NALULE, okulamusa mujaguzo, asimbye omuti , asiimye abamu ku basajja be  nga abawa ejjinja ly’ebyafaayo era mu bano mwemubadde ne Timothy Makumbi ow’emyaka 100. Ssaabasajja Kabaka era awadde essomero lino ebitabo ebya O ne A Level nga kino kyanjuddwa Katikkiro Mayiga .

Mu kwogera kwe okututte eddakiika embale, Ssekalibakango  asabye abantu be  okussa amaanyi mu byenjigiriza tusobole okuba n’omutindo omulungi mu kino ,  era oluvannyuma n’agabula Obuganda ekijjulo Makeke – Keeki .

Omukolo gwetabiddwako Abalangira n’abambejja, Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo omuli ba Minisita mu Gavumenti eya wakati, Ababaka ba Palamenti, Abataka abakulu ab’obusolya, Abakulira amasaza ga Ssaabasajja Kabaka, ba Ssentebe ba zi disitulikiti n’abalala njolo.

Wangaala ayi Maasomoogi!

Leave a Reply