Ekiri e Butambala kifumba mutuku ku ntikko y’emikolo gy’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 23 ng’atudde ku Namulondo alamula Obuganda.
Emikolo gitojjerera ku Mbuga y’essaza ly’e Butambala e Kabasanda nga ensi n’ensi y’abantu ba Ssaabasajja ekuluumulukuse okuva e Bule ne Bweya okwetaba ku mikolo gino.
Ssaabasajja atuuse ku ssaawa nga 11: 30 ez’enkya era n’akubirwa emizinga gy’engoma abiri mw’esatu oluvannyuma n’akongojjebwa bazzukulu ba Kayira Ab’e Mbogo.