Omubaka wa Kanyum County mu Disitirct ye Kumi Ismael Orot nga wakibiina kya NRM agamba ye teyejjusa kuba nti yawagira ekiteeso ekyaleetebwa eky’omusolo ku Social Media ne Mobile Money. Agamba nti omusolo guno mulungi nnyo kuba bw’oba okozesa Internet oba okuweereza ssente tewaba akusindisi oziweereze. Bwoba tobyagala biveeko.
Ono kinajjukirwa yalondebwa okubeera Minisita omubeezi ow’ebyenguudo nga 6 – June – 2016 wabula nasuulibwa akakiiko ka Palamenti akasunsula ababa balondeddwa nga bagamba nti ebiwandiiko bye byali bamunyoto.