Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Mukono Henry Kaweesa alagidde abeyimirira agambibwa okutta muganzi we okusasula obukadde buli omu 50 olwokulemererwa okuleeta omuntu gwebeyimirira. Kigambibwa nti Kirabo Mathew yatta eyali muganzi we Desire Mirembe era nga abadde yateebwa ku kakalu ka Kkooti okumala emyaka 6. Ono abamweyimirira kuliko; Maama we Imelda Wabulendo, Kojja we Bernard Mbayo n’omulala Elizabeth Baleke era nga bazisasuliddewo mbagirawo wabula omulamuzi n’abalagira okunoonya omuntu waabwe bamuleete mu Kkooti.
Bano okubasasuza kidiridde Kirabo obutalabikako mu Kkooti omulundi ogwokusatu ogwomudiringanwa so nga nabamweyimirira bazze bategeeza Kkooti nga bwebatamanyi Kirabo gyali.
Ku lunaku olw’okusatu Wednesday 10 ayogerera ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza kubuzzi bw’emisango Charles Twiine yavaayo nategeeza nga Poliisi bweyali ekutte Senior Laboratory Technician wa Jinja Referral Hospital Razak Waswa olwokujingirira ebyava mu kukebera Kirabo ekirwadde kya COVID-19 nga biraga nti amulina.
Waswa okukwatibwa kyadirira Bannamateeka ba Kirabo okutegeeza Kkooti nti omuntu waabwe yali mulwadde ekirwadde kya COVID-19 nga tasobola kuleetebwa mu Kkooti.