Munnamateeka wa Executive Director w’eddwaliro ly’e Mulago Dr. Baterana Byarugaba, Henry Kamagara avuddeyo nategeeza nga bwakyewuunya lwaki Akakiiko ka State House Health Monitoring Team kakutte omuntu we ku nsonga za ssente so nga si gyatwala alipoota yensaasanya ya ssente.
Kigambibwa nti Dr. Byarugaba akuumirwa ku Jinja Road Police Station mu Kampala, nga kigambibwa nti yalemereddwa okuwa embalirira y’ensimbi obuwumbi 28 omuli n’okusasula Pharmacy emu akawumbi 1 nti yawa Mulago eddagala eritaaliyo.
Ono era bamuvunaana okukiriza Pharmacy 2 okuli; Eco Pharmacy ne First Pharmacy okubeera munda mu Ddwaliro e Mulago ngate kimenya mateeka nti era Pharmacy zino zimaze ebbanga nga tezisasulira bifo mweziri.