CAO agambibwa okulya eza Parish Model akwatiddwa

Chief Administrative Officer wa Disitulikiti y’e Mitooma Edmund Kabale Ntimba yakwatiddwa ku bigambibwa nti yabulankanya obukadde 289 ezaali eza Parish Development Model (PDM). Ntimba yakyuusibwa nagibwa e Kabale natwalibwa e Mitooma omwaka oguwedde yakwatiddwa ne Christopher Namara, District Community Development Officer, Beda Mwebesa District Production and Marketing officer, ne Boaz Kakuru, District Planning Officer.
Bano bakwatiddwa lwakulemerera kunnyonyola wa obukadde 289 gyebwalaga ngolukiiko luno lwategekeddwa Joveline Kalisa Kyomukama, PDM Deputy National Coordinator ku Minisitule ya Gavumenti ezebitundu.
CAO agamba nti ensimbi yazikozesa kugula mafuta nekyemisana kyabakozi ba Gavumenti abaali basomesa abantu ku nkola ya Parish Development Model.
Leave a Reply