Akakiiko akalwanyisa obuli bwenguzi n’obukenuzi okuva mu maka gomukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit nga kali wamu ne Poliisi bakutte CAO wa Disitulikiti y’e Ntoroko Anslem Kyaligonza ku bigambibwa nti yawa abakozi abasoba mu 500 emirimu mu ngeri abasukka mwabo abalina okukolera Disitulikiti nga teyebuuzizza ku Kakiiko ka Disitulikiti akavunaanyizibwa ku kugaba emirimu.
Kigambibwa nti CAO era yeddiza obuyinza bwa District Service Commission neyelondera abantu beyawa emirimu, nagaba ebbaluwa zemirimu eziriko ebiteeo ebigingirira ebya District Service Commission era nabateeka ku lukalala lwabalina okusasulwa Gavumenti. Kigambibwa nti n’abakozi beyawa emirimu bateekebwa ku musaala omunene ennyo kwezo zebalina okusasulwa mu mateeka.
Kino CAO kyeyakola kyaviirako ebitongole eby’enjawulo mu Disitulikiti y’e Ntoroko okubeera n’abakozi abangi, ekyaviirako omusaala okuba nga tegumala nekyaddirira be bakozi okuba nga kati babanja emyezi 6. Mu bitongole ebimu ng’ekyebyobulamu kyaviirako abakozi okwekalakaasa mu malwaliro ga Gavumenti agamu.